Ekika ky’e Njovu kinabaanga n’enkiiko ku buli mutendera, era z’ezino wammanga: rina enkiiko satu (3) mwekikulemberera abe Njovu.Olukiiko olusooka era olusingira ddala obukulu lwe lwa Kasolya.
I. Olukiiko Lw’ennono oba Olw’akasolya
II. Olukiiko Olufuzi
III. Olukiiko Lwabonna
1. Olukiiko lw’ennono oba olwa Kasolya
1.2 Engeri yaalwo n’abalutuulako
Olukiiko luno lw’abakulembeze ab’ensikirano era lwa nnono mu kika. Lukubirizibwa era Lunakubirizibwaanga Omutaka Mukalo, Omukulu w’ekika, nga ye Ssentebe waalwo. Bw’atabengaawo anasigiraanga.
Bano wammanga be baalutuulako kakati era be banalutuulangaako
a) Abakulu b’amasiga
b) Abakulu b’ennyiriri zomu kasolya
c) Katikiro w’ekika nga ono y’anabaanga omuwandiisi w’olukiiko luno.
1.2 Entuula z’Olukiiko
Olukiiko luno lunatuulanga omulundi gumu mu myeezi esatu.
Lunatulanga Kambugu Busiro oba ekifo ekirala kyonna nga ssentebe waalwo, Omutaka Mukalo, bwanabaanga asazewo.
1.3 Emirimu gy’Olukiiko Luno
Buno wammanga bw’ebunabaanga obuvunanyizibwa bw’olukiiko luno:
(i) Okutereeza eby’ennono, obulombolombo n’empisa mu kika.
(ii) Okuloonda Katikkiro w’ekika
(iii) Okukakasa Cabinet ya Katikkiro ng’omwo mw’otwaalidde abakulu bano: Sipiika, Omuwandiisi, n’Omuwanika.
(iv) Okuwozesa emisango oba ensonga endala ebiba bijulidde mu kika.
(v) Okutawuulula oba okutereeza enkayana mu bakulembeze ab’ensikirano oba abakulembeze abaloonde.
2. Olukiiko Olufuzi Olwokuntikko
2.1 Engeri y’olukiiko luno
Olukiiko luno lunakubirizibwanga Sipiika era yanabaanga Ssentebe waalwo.
2.2 Entuula y’Olukiiko luno
Olukiiko luno lunatulanga omulundi gumu buli mwezi. Lunatuulaanga buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi. Lunatuulaanga ku offiisi y’ekika e Lubya Kyaddondo. Omutaka yanaggulaangawo olukiiko luno ku ntandika y’omwaaka era y’anaggalangaawo olukiiko luno ku nkomerero y’omwaaka.
2.3 Abatuula mu Lukiiko luno
Bano wammanga be banatuulaanga mu Lukiiko Olufuzi:
1. Omutaka Mukalo
2. Katikiro w’ekika
3. Ab’amasiga
4. Ab’ennyiriri zo mu kasolya
5. Abakungu bammemba ba Cabinet
6. Ababaka ba Mukalo mu bitundu
7. Ababaka ababiri okuva mu buli ssiga nababaka ababiriokuva mu buli lunyiriri olwomu kasolya.
8. Abazzukulu abalina ensonga zebanjula.
2.4 Emirimu gy’Olukiiko Olufuzi
Omulimu omukulu ogw’Olukiiko Olufuzi kwe kuteesa ku mbeera y’ekika n’okufuna ebirowoozo by’abazzukulu ku nsonga ezitali zimu ezikwaata ku kika.
Okuteesa ku nsonga n’enteekateeka z’ekika mu by’ennono n’eby’enzirukanya ya gavumenti y’ekika.
Okufuna ebirowoozo okuva mu bazzukulu era n’okubiteesaako.
Okuyisa entegeka y’emirimu n’ebbago ly’embalirira eby’omwaaka ebireteddwa Katikkiro.
Okwanjulirwa n’okuyisa ennyimbe eziva mu masiga ne mu nnyiriri zomu kasolya.
Okuteesa‘ku alipoota za Katikkiro eza buli mweezi n’eza buli mwaaka nga zifa ku mbeera y’ekika wamu n’enzirukanya y’emirimu.
Okuteesa n’okulonda Katikkiro n’abakulembeze abalala abaloonde.
Okwaaniriza‘ obubaka obuvudde ewa Jjajjafe Mukalo.
3. Olukiiko Olwa Bonna
3.1 Engeri y’olukiiko luno
Luno lwe Lukiiko lw’ekika ky’abeddira Enjovu bonna nga bazzukulu b’Omutaka Mukalo abali mu Buganda, Uganda yonna awamu n’ebweru wa Uganda. Lunakubirizibwaanga Sipiika.
3.2 Abatuula mu Lukiiko Lwa bonna
w Omutaka Mukalo
w Katikkiro
w Abakungu bammemba ba Cabinet
w Abakiise ku Lukiiko olufuzi olw’ekika
w Bazzukulu ba Mukalo bonna mu nsi gyebali
w Ab’emikwano gy’ekika ky’Enjovu ababa bayitidwa.
3.3 Entuula y’Olukiiko Lwa bonna
w Olukiiko luno lunatuulana e Kambugu - Busiro ku Butaka obukulu obw’e Kika ky’e Njovu.
w Olukiiko luno lunaatuulanga omulundi gumu buli mwaka. Wabula Omutaka Mukalo ayinza okuluyita mu bbanga eddala lyonna singa wanaabangaawo obwetaavu.
w Ekiseera mwerunaatuuliraanga kinasalibwangaawo Olukiiko Olufuzi okusinziira ku mbeera eriwo nga lukolaganira wamu n’olukiiko olukulu olw’akasolya.
3.4 Emirimu gy’Olukiiko Lwa bonna
Ebigendererwa ebikulu by’olukiiko luno binabaanga bino:
w Okufuna amawulire ku bigambo ebikulu ebifa mu kika. (Programmes)
w Okumannyagana
w Okumanya obutaka bwaffe nadala abaana
w Okufuna ebirowoozo ebizimba obutaka n’ekika kyonna okutwalira awamu.
w Okulambula n’okuduukirira Project ezikoledwa ku butaka.
Waggulu^^ |