Ab’Enjovu balina emirimu mukaaga emyaatikirivu ku Kabaka, era gyegino wammanga:
1. Obusumba bw’ente
Omulimu gwa’Ab’enjovu ku Kabaka omukulu gwa busumba bwa nte. Omulimu ogwo gukolebwa Ssensalire Omutaka w’eKawoko, Mutabani wa Ntambi e Lubya. Okusinziira ku MB Nsimbi, Ssensalire omulimu gw’obusumba yagufuna bw’ati:
Awo olwatuuka Mukalo n’alonda muzukulu we Ssensalire okugenda n’abaana b’Abataka abalala abaagoberera Omulangira Kimera e Bunyoro okujja okusikira entebe za bajjajjaabe. Omulangira bwe yali ng’ajja n’addira Mpinga Ow’olugave, mutabani wa Kasoma ow’emmigadde, n’amuwa omulimu gw’okulabirira ente ze ze yajja nazo era n’okukwata amata ge ge yanywangako.
Awo bwebatuuka mu kkubo ne wabaawo omuntu n’azza omusango, ne bamuwozesa, omusango ne gumusinga, Omulangira n’alagira Mpinga okutta omusibe oyo eyali amaze okusalirwa omusango. Mpinga bwe yali ng’agenda okutta omusibe kwe kugamba munne Ssensalire nti “Nkwatira ku nsumbi y’amata g’Omulangira mmale okutta omusibe”. Ssensalire naye teyagaana n’akwata ensumbi y’amata. Mpinga naye omusango gw’okutta omusibe teyagulwako. Olwagumala n’agamba Ssensalire nti “Mpa ensumbi yange”. Ssensalire kwe kugaana n’ensumbi. Mpinga yalaba biri bityo ng’omusango agussa mu maso ga Mukama waabwe. Abataka bwe babuuza Ssensalire ky’avudde agaana okuddiza Mpinga ensumbi ye, yabaddamu ng’agamba nti:
“Mpinga bw’amaze okutta omusibe nze ne ndaba ng’engalo ze zirimu omusaayi era nga tezikyasaana kukwata ku makula ga mulangira.
Omulangira n’Abataka bwe baasala omusango Ssensalire n’asinga era omulimu gw’obusumba naguweerwa ddala okuva olwo, ne Mpinga n’aweebwa ogw’obumbowa. Ku Mpinga kwe kwava olugero olugamba nti ‘Nkwatirako bwe bumbowa’
Ente ya Kabaka enkulu Ssensasire gy’alunda eyitibwa “Mugumba” (azaala bagenyi). Endere ya Ssensalire eyamuweebwa Kabaka okufuuwa ng’alunda ente ze eyitiibwa Tagiweereza (yayitwa ekitunzi), ate omuggo gw’akwata ng’alunda guyitibwa Beera-empya (beerabira emiryango). Edda Ssensalire yabanga n’Abalaalo bangi e Ssese ne kulukalu, abaalundanga ente za Kabak ze yakuumanga.
Buli Kabaka elyanga Obuganda yawanga Ssensalire ente ey’okumulundiranga eyayitibwanga Mugumba. Ente eyo yavanga Ssese ewa Mukasa. Ssensalire yennyini ne Mpinga be baaginonana e Ssese ne bagireetera Kabaka.
Awo Kabaka bwe yamalaanga okugiraba ng’agikwasa Ssensalire, n’endere Takiweereza n’omuggo Beera-empya. Ente eyo ye yavangamu omuzigo n’amata agaayozaanga oluwanga lwa Kabaka nga Kabaka oyo amaze okufa.
2. Okuvuba enkejje “Walulenzi”
Ssempyangu mutabani wa Ggulu ye yavubanga enkejje “Walulenzi” eyayalulanga abaana ba Kabaka
3. Okukuba Akadinda
Omulimu gw’Abenjovu omulala ku Kabaka gwali gwa kukuba Kadinda. Omulimu guno gukolebwa kuva Buligi mu ssiga lya Ssemmambo Ssebuwufu Ssewandigi.
4. Okukuba “Ennyeenya”
Ate omulala gwa kukuba ngoma eziyitibwa “Enyeenya”
5. Obukomazi
Katale ow’e Ssunga mutabani wa Kikomeko e Luubu yali mukomazi wa Kabaka
6. Obwa Kabona bwa Katonda e Butonda
Ab’Enjovu be baali bakabona ba Katonda e Butonda mu biggwa bye ebisatu ebyaali mu Kyaggwe: e Nnamakwa; e Buzu; n’e Bukule.
7. Ekitongole Ekiryanga
Ab’Enjovu bebakulemberaanga ekitongole Ekiryanga ekyawanikanga ebikozebwa mu lubiri.
Waggulu^^
|