1.0 Ensibuko y’amannya mu kika
Amannya agatuumibwa mu kika ky’enjovu agasinga obungi ga nnono era ga buwangwa, era ga biti bingi.
1.1 Agaasiibuka ku bukulu obw’ensikirano
Amannya agagwa mu kiti kino g’emannya g’abakulu ab’ensikirano okutandika ne Mukalo okusenvula mu nnyiriri ezo mu kasolya n’empya zaazo, tuutyo mu masiga, awo ne tukka mu mituba ne mu nnyiriri ne tukommekereza n’empya n’ennyumba.
1.2 Ag’engero ne nn’eyisa
Mu ttuluba lino mwemuli amannya agayingiramu mu kika nga ga ngero ate amalala nga ga kwepaatika. Gano ate gazingiramu n’agamu ag’ekiti ekisoose. Mangi ku mannya gano gavaanga ku mpisa z’ab’enjovu ennungi oba embi, enjogera zaabwee, emize gyaabwe, n’ebirowoozo byaabwe ebya buli ngeri.
1.3 Ag’ensolo n’ebirala
Amannya mangi gaasibuka ku nsolo n’ebiwuka ebya buli ngeri, emiti n’emiddo ebyabaanga mu bulamu bw’ab’enjovu. Bingi ku bintu bino baabiggyangako engero nnyingi ku zo nga zitandika ne nnukuta Sse, ab’enjovu, okufanana n’Abaganda abalala, ekigambo ekyo kye baggyamu okukifuula erinnya ly’abantu.
1.4 Agaava ku ndabika y’omuziro gwaffe
Amannya mangiko gatuumwa ng’abagatuuma era abagayiiya basinziira ku ku nkula ne ku ndabika y’enjovu nga nnamu oba ng’efudde. Eby’okulabirako bino bigasa okujjayo ensonga eno. Ssessanga liraga obugagga bw’amasaanga enjovu bw’erina; nga mu mbeera eno tewunyikamu mu nsi yonna. Erinnya Mukalo ery’Omukulu w’ekika, lyandiba n’amakulu amakusike nga bwe twaalabye mu nnyingo esooka, naye mu ndowooza ey’amangu libikkula obwaaguuga bw’ennyama y’enjovu ng’ekaliriddwa n’efuuka omukalo. Omukalo ogwo tegwenkanika obunene n’obuzito mu nsolo zonna eziri ku nsi.
Erinnya Ssemmambo ery’Omutaka w’e Buligi liraga obungi bw’omuwendo gw’emmambo ezikozesebwa okuleega eddiba ly’enjovu ng’ettiddwa oba ng’efudde. Mu solo zonna, tewali avuganya Wanjovu okubeera n’emmambo. Mu nnyingo esooka amakulu g’erinnya lino n’ennono yaalwo bivaayo bulungi kulaga ekibeera ku wanjovu ng’agudde.
Erinnya Ssozi likungiriza obugulumivu bw’enjovu. Abagitunulira ebalabikira ng’olusozi oluwanvu ate nga lugazi olwawukana ku nsozi eza bulijjo ne lufuuka essozi. Ssentubalo, erinnya erituumwa mu njovu, liyinzika okuba nga lyatuumwa omu ku bazzukulu ba Mukalo olw’entunula ye, naye ate lyatuukana n’entunula y’enjovu buli kadde erabika ng’etulubadde.
1.5 Agaasibuka ku buwangwa n’ennono y’ebifo
Amannya agamu gaava mu buwangwa n’ennono ebisaangibwa mu bifo ab’enjovu gye baberaanga. Mu butaka bw’Ow’essiga Ssemmambo e Buligi esangibwaayo ejjinja ery’obuwangwa eriyitibwa Nabbaale. Ku jjinja eryo kirabika kwekuva amannya Ssebbaale ne Nabbaale agatuumibwa ennyo mu ssiga eryo. Kumpi awo, era we wasula engo y’omusambwa eyitibwa Nawandigi. Ku Nawandigi kwekwaava erinnya Ssewandigi eriyitibwa Omutaka Ssemmambo ne linaalyo Ssebuwufu (bwa ngo, tebuwunyibwaamu mbwa) era ery’omutaka oyo. Amannya Nawandigi ne Ssebuwufu gatuumwa nnyo ewa Ssemmambo e Buligi.
2. Amannya agatuumibwa wonna mu kika
Okufananako n’amannya g’Abaganda gonna, amannya g’abeddira enjovu gawulwaamu ag’abalenzi n’ag’abawala. Gano wammanga tegawuddwa mu masiga naye ge gatera okuwulikika ennyo mu
kika. |